Okusinza n'Okutendereza
Tiimu Zokusinza n'Okutendereza
Ekibiina ky’Abakyala kiweza ba memba nga 80. Ekibiina kyatandika n’ekigendererwa eky’okusomanga baibuli naye bwewaayitawo ebiseera baatandika okwenyigira mu nsonga endala ezisomooza abakyala n’amaka. Baatandika okutegeka emisomo egiruubirira okunyweeza amaka n’okusomesa abaana ebintu ebibazimba wamu n’okuyambagana.
Abakyala bebakulembera okusaba n’okusinza okwa Ssabbiiti ey’okubiri mu mwezi gwa Mugulansigo nga luno lwebakuza olunaku lw’abakyala ne ba maama.

Ekkanisa y’oLuganda ekozesa enkola ya ttiimu mu buweereza era kino kibadde kyankizo mu kuzimba obuweereza. Buli Mukristaayo akubirizibwa okwegatta ku emu ku ttiimu:
- Yokaana
- Makko
- Matayo oba
- Lukka.
Buli ttiimu ekafuna omukisa okuteekateeka okusaba n’okusinza okubeera mu kkanisa Ssabbiiti ebiri ezisembayo mu mwezi.
Ebimu ku bigendererwa bya enkola ya zi ttiimu:
- Okuwa buli Mukristayo omukisa okuweereza Mukama
- Okukumakuma n’okugatta abantu
- Okusisinka n’okugabana ekigamba kya Mukama
- Okwezamu amaanyi
- N’ebirala
Enkola eno eyokukolrea mu ttiimu ebadde nsaale nnyo mu kubeerawo n’okukuza Ekkanisa wamu okukuuma obumu mu Kkanisa eno. Abakristayo bawaayo obudde bwabwe ne sente zaabwe okulaba nti okusaba n’okusinza kweyagaza. Enkola eno eretawo okusinza n’okutendereza okunyuvu - anti buli tiimu egezaako okuteekawo eky’enjawulo.
Ng’ojjeeko obuwereeza bwa ttiimu, Ekkanisa y’oLuganda erina ebibiina; eky’abavubuka n’abaana, eky’abakyala neky’abaami era Abakristayo bayita mu bibiina byabwe bino okuweereza, okusinkana n’okwezzaamu amaanyi.

"Okusinza n'okutendeleza mu Kkanisa y'Oluganda okuzaamu omwoyo"
Abakyaala b’Ekkanisa y’oLuganda
Ekibiina ky’Abakyala kiweza ba memba nga 80. Ekibiina kyatandika n’ekigendererwa eky’okusomanga baibuli naye bwewaayitawo ebiseera baatandika okwenyigira mu nsonga endala ezisomooza abakyala n’amaka. Baatandika okutegeka emisomo egiruubirira okunyweeza amaka n’okusomesa abaana ebintu ebibazimba wamu n’okuyambagana.
Abakyala bebakulembera okusaba n’okusinza okwa Ssabbiiti ey’okubiri mu mwezi gwa Mugulansigo nga luno lwebakuza olunaku lw’abakyala ne ba maama.
Abakyala bebakulembera okusaba n’okusinza okwa Ssabbiiti ey’okubiri mu mwezi gwa Mugulansigo nga luno lwebakuza olunaku lw’abakyala ne ba maama.
Abaami b’Ekkanisa y’oLuganda
Ekibiina ky’Abaami b’Ekkanisa y’oLuganda kiweza abaami ataano (50). Nga bayita mu kibiina kyabwe kino, abaami bawagira bannaabwe mu ngeri ez’enjawulo omuli okudduukirira banaabwe mu biseera ebizibu ng’okufiirwa ab’ehhaanda, mu bulwadde, n’ebilara.
Abaami bebategeka okusaba n’okusinza okubeerawo ku Ssabbiiti eyokusatu mu mwezi gwa Ssebo Aseka nga tukuza olunaku lwa ba taata (father’s day), bategeka okusisinkana kw’abaami n’okwa’maka ngabayita mu bintu nga okugenda ku bifo ebisanyukirwamu nga olubalama (beech), paaka nebirala.
Abaami bategeka emisomo egyenjawulo okuyiga ku bintu ebibakwatako nebikwata ku maka n’abaana.

Ekkanisa y’oLuganda Choir
Okuva lweyatandika, Ekkanisa y’oLuganda egezezaako nnyo okubeera ne choir omuli abayimbi abeewaayo okuwereza ate nga bakulemberwa abantu abalina obumanyirivu mu kuyimba ennyimba z’ekkanisa nga eyasookera ddala yali Omuyimbi omututumufu Diplock Segawa, naddirirwa Muky Sarah Kibalama eyayimbanga mu Golden Gate Choir, Mw. Paulo Ntwantwa ayimba ennyo Enyimba za Kristo ate kati ali mu mitambo ye Mw. Saulo Kafeero omuyimbi nakinku.
Mu myaka egiyise choir eno ekyalidde amakanisa amalala wano mu Bungereza n’ebweru. Nga bayita mu nnyimba, baatwala ekigambo kya Mukama e Manchester, Sweden ne Massachusetts mu USA. Mu mwaka gwa 2018, nga gwe mulundi ogwasokera ddala, choir yakwata ezimu ku nyimba zabwe ku butambi obw’amaloboozi n’obwebifananyi (CD ne DVD). Ennyimba zino zaatekebwa ne ku mukutu gwa Spotify omuntu yenna gwasobola okukyalira naawulira ennyimba zino.