Ebitukwatako
Ekkanisa y’oLuganda etambulira ku musingi gwa ‘Aglican’ era esangibwa mu Kkanisa ya St Jude ne St Aidan’s, Thornton Heath, Croydon.
Ekkanisa y’oLuganda yaggulwao mu butongole nga 27 Muzigo 2007. Omukolo gw’okuggulawo Ekkanisa y’oLuganda gwakulemberwa ba Ssabadinkoni abawummula Tony Davies ne Danny Kajumba mu nteekateeka ya ‘Fresh Expressions’. Enteekateeka eno eyatekebwawo Ekkanisa ya Bungereza (Church of England) esobozesa abantu abava mu mawanga amalala okusinziza mu nnimi zabwe enzaliranwa newakubadde nga bawangaalira wano mu Bungereza.
Ekkanisa eno nga tenaggulwawo, waaliwo ekkanisa emu yokka mu Bungereza ey’Abakristayo nga bakunhhaana omulundi gumu mu mwezi. Obungi bw’abantu aboogera oLuganda mu Bungereza gyebwakoma okweyongera, n’obwetavu bw’ebifo abantu gyebasobola okusinziza mu Luganda gyebwakoma okweyongera.
Omukisa bwegwajja Omusumba Nathan Ntege nalondebwa okubeera omwawule w’Ekkanisa ya St Jude e Thornton Heath, Abakristaayo b’ekkanisa eyo abaali boogera oLuganda nebamusaba atuuse okusaba kwabwe eri Obulabirizi bwe Southwark bukkirize okusinza mu Luganda mu kkanisa eno.
Obulabirizi bwa Southwark bwakkiriza era kati ekkanisa ekuze era mmanyifu wonna; ewereza abantu okuva mu bitundu bya Bungerza eby’enjawulo wamu n’abo abakyala okuva mu mawanga ga Europe amalala ate n’abali mu mawanga amalala nga beyunga mu kusaba kuno nga bayita kumutimbagano ku mukutu gwa zoom.