Ekkanisa y’Abaana
Ekirwadde kya senyiga kolona nga ketinabaawo, abaana baali basukka mu bitundu 30% mu kkanisa eno. Mu biseera by’omuggalo, twagezaako okusomesa abaana ku mutimbagano naye okujjumbira nga kutono. Okujjumbira okutono wamu n’obutakakasa nteekateeka za kuggulawo masinzizo kyalemesa enteekateeka y’okusomeseza ku mutimbagano era nekuyimirizibwa – kino kitegeeza nti abaana baasubwa okusomesebwa okumala emyaka ng’ebiri!
Okuva ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2022 gavumenti bweyaggulawo amasinzizo, Ekkanisa y’Abaana nayo yaggulawo era ejjumbirwa nnyo. Kisanyusa okulaba akaseko ku matama g’abaana bano nga bazze okuyiga ekigambo kya Mukama wamu n’okusisinkana banaabwe – abazadde abaleeta abaana mwebazibwa era tusaba abatannaba kuzza baana mubaleete bakulire mu Mukama.